Contact Us  |  Help  |  Home 
Log In  |  Register 
[Home Page] [About Us] [Contact Us] [Organization Calendar] [The Books] [Organization Request Info] [Links] [Engero ez'omu Baibuli Ekitundu Ekisooka] [Engero z'omu Baibuli Ekitundu Ekyokubiri] [Bible Quiz] [Engero ez'omu Bibuli Ekitundu Ekyokusatu] [Abatume Ekkumi n'Ababiri Awamu ne Pawulo] [Olugendo lw'Omutambuze-Mukristaayo] [Ebigere by'Empeewo ku Bifo Ebigulumivu] [Devotions and Prayer] [Olugendo lw'Omutambuze - Nnamukristaayo] [Order Form] [Luganda Bible] [Hope Junior School]

Luganda Ministry

Bible Related Stories



Ebigere by'Empeewo ku Bifo Ebigulumivu:

Esuula Eyokubiri Mu kitabo kino

Kutya-Kungi Alumbibwa Bakutya

KUTYA-KUNGI BWE yazuukuka enkeera nga n'okutya ku muweddemu. Kye yasooka okulowooza ky'ali nti, "Olwa leero ŋenda ku Bifo Ebigulumivu n'Omusumba." Kino kyamusanyusa nnyo era n'ekyenkya ne kimulema n'okulya, eno nga bw'ayimba ate nga bw'akola entekateeka ey'okugenda. Muli ng'awulira ng'okuva ensigo y'Okwagala lwe yamuteekebwa mu mutima gwe, ennyimba ez'essanyu zaali ziyiika buyiisi ng'amazzi munda mu mutima gwe. Era oluyimba olwasingira ddala okulaga nga musanyufu lw'ali mu kitabo ekikadde eky'ennyimba Omusumba kye yayagalanga ennyo ekukozesa nga balabirira ebisibo bye, nga babitw„la mu ddundiro. Naye bwe yali akola obulimu bwe obutonotono, ng'Omusumba bwe yamulagira okukola, n'atandika okuyimba olumu ku nnyimba ezo olugamba nti:

Kabaka bwe yali ng'atudde ku meeza ye,
Amafuta gange ag'omugavu
Ne gawunya akaloosa,
Omuvumbo gwa mooli
Oguterekeddwa muterekero lyange
Nguyiwa ku bigere bye.
Okwagala kwange kusaanye okulagibwa,
Yanjagala era n'agenda nange omunaku,
Era omuzaana.

Mmwe abawala ba Yerusaalemi
Ndi muddugavu mu ku laba
Ng'eweema ey'amaliba g'embuzi, naye oba
Ng'eweema ya Sulemaani
Waatali nina enkovu z'ekibi
Naye Okwagala kuli munda.

Ttonyoma kuba ndi muddugavu,
Omusana gwe gunjokeza mu bwenyi bwange
Abaana ba mmange bankyawa,
Ne bangoba mu kifo kyange.
Ensuku zazabbibu yaabwe, nakolanga
Nga bwe nkaaba.
Naye olusuku lwange
Olwazabbibu silulabiridde.

Sirimulongoofu eri Kabaka,
Newankubadde omulongoofu
Mu kyambalo kyange,
Ekisa ky'Obwakabaka Bwe, kimmala
Ebyetaago byange ne nsaanira.
Okuvvoola kwange tagenda ku kutunuulira.
Naye ayagala obulungi obulibaawo. Oluimba 1:12-15; 5, 6)

N'awulira nga mu mutima gwe nga musanyufu mu kiseera ekyo mu buli kye yali akola, ate ng'agira ne yennyamiramu olw'ebyo ebitamanyiddwa, naye ate bwe yajjukiranga eriggwa eryateekebwa mu mutima gwe, n'abuguumirira okuva ku mutwe okutuuka wansi ku bigere n'essanyu eritayogerekeka. Ng'agira ne yewuunya nti, "Nange ne nfuna okwagala! Nange nze! Omulema nze Kutya-Kungi!" N'alowooza nga bw'alituuka ku Bifo Ebigulumivu, agenda kwerabira okuswala okumufuula omulema, era ng'alifuusibwa omulungi, era nga n'ensigo eyateekebwa mu mutima gwe, bw'eryanya agenda kwagalabwa naye. Okulowooza obulowooza kw'ebyo, okubuusabuusa ne kwegatta n'essuubi. Ate olwo n'alowooza nti, 'Tekiyinza kuba kituufu; mpozzi ekirooto ekisanyusa, naye nga tekigenda kutuukirira." Olwo ne yeeyogeza yekka nti, Ooh, kintiisa kiyinza obutaba bwe kityo," ate bwe yalowooza ku Musumba, omutima ne gumukuba olwo n'agenda ku luggi oba kuddirisa amulingize alabe oba ng'ajja okumunona.

Ekiseera eky'enkya ne kiggwaako nga tamulabye, bwe bwatuuka mu ttuntu ne wabaawo ekintu kye yali tasuubira ekyamutuukako, ab'oluganda lwe abamutiisa ne bamulumba. Amangu ago, nga tanategeera nakimutuuseeko, ne bamutuukako. Yasooka kuwulira nswagiro zaabigere n'oluvuvuumo lw'amaloboozi gaabwe, yagenda okukyuka nga yetolooddwa eggye lya basengabe, bakkojja ne bakizibwe. Ku mulundi guno Kutitiira teyagenda nabo. Kubanga ab'oluganda yali amaze okubabuulira engeri gye yali asisinkanye n'Omusumba, era n'abategeeza nga bwe yamugwaako mu ngeri embi eyamutiisa, nabo ne basalawo nga tekyalibadde kyamagezi okugenda naye.

Baali bamaliridde Kutya-Kungi okumukkirizisa afumbirwe, era oba nga bwe babasobola, bamugye mu kayumbake bamutwale mw'emu ku nnyumba zaabwe gye babeera. Okumugamba bwe batyo baali baagala kukikola ng'ali yekka nga n'Omusumba taliiwo ng'agenze n'ebisibo bye, nga bamanyi tewajja kuba mutawaana ajja kukkiriza. Kuba baamanya nga tasobola kukkiriza ku mukwasa maanyi mu budde obw'emisana; kuba nga waliwo abakozi b'Omusumba mu kyalo wonna abaali bayinza okugenda ne bamutaasa. Kyokka, baali bamanyi nga Kutya-Kungi mwangu okutiisibwatiisibwa ate nga munafu, ne basuubira nti, 'singa bagenda bangi,' agenda kutya akkirize agende nabo mu guyumba gwa mukama waabwe Kutya. Olwo bagenda kuba, nga bamuwangudde.

Kw'olwo mukama waabwe omukulu Kutya yagenda nabo, bwe yatuuka n'ayogera ne Kutya-Kungi bulungi mu ddoboozi ng'omuzadde, n'amutegeeza nga bwe baali bagenze mu ngeri nnungi era nga balina ekigendererwa mu ngeri ey'omukwano. Yali akimanyiko nga Kutya-Kungi yali agaanyi era tayagala kufumbirwa muntu gwe baali bamulabidde, kyokka naye yali ayagala afune omukisa ayogereko naye nga bali bokka, era alabe ng'asobola okumukkirizisa. Yamutegeeza nga bwe ky'ali kimulabikira nga bombi buli omu yali asaanira munne mu buli ngeri singa baba bafumbiriganiddwa, naye nga bwe wabaawo ensonga etemanyiddwa mu mwoyo gwa Kutya-Kungi ng'esobola okumalibwawo singa ab'ayogedde naye. Oba si kyo, yamusuubiza mu ngeri ennuungi, nga bw'atasobola kumuwaliriza kufumbirwa Kutitiira ye kutya-kungi nga teyeyagalidde.

Omukulu waabwe bwe yamala okwogera naye, Bakutya ne bakaayana, nga buli omu omuwa ensonga eno n'eri. Amazima gaali nti, 'baali bamutegeeza nga bwe yali yeekutudde ku beηηaandaze okumala ebbanga eddene. Era ng'alina endowooza embi eri ab'oluganda lwe, n'ekigendererwa ky„bwe gy'ali, nga baagala mu kiseera ekyo, abeereko nabo okumala akaseera, okubawa omukisa okumulaga nga yali tabategeera era nga ne kye yali abalowooleza okuba si kye bali.'

Ne bamutegeeza nti, "Kutitiira ayinza okuba nga si mulungi era nga tasanyusa mu ndabika ng'omulangira mu lugero, era nga kituufu alina empisa ezitali nnuungi," naye ekyo ky'ali lwa kuba yali tamanyi kisobola ku mukkakkanya, era ne kimuky?sa ng'okuwasa. Mazima obuvunaanyizibwa era n'essanyu ery'obulamu bw'obufumbo, bigenda ku mukyusa mangu. Ky'ali kigenda kuba kya mukisa mulungi okumuyamba era n'okuba nga ye yennyini Kutya-Kungi y'amuyambya mukyuka okwo, bonna kye baali balindiridde okulaba nga kituukirira.

Ne babeera awo bonna nga boogera kino nakiri, nga ne Kutya-Kungi ali awo abatuddemu wakati mu kutya okungi, naye nga ne byeboogera newankubadde bye bateesa tabitaddeko mwoyo. Nga bwe baali baagala, baali batandise mpolampola okumuyingizaamu okutya era nga naye atandise okutya. Ky'ali kirabika nga baali baagala bamusendasende kyeb„va bamugamba nti, 'gw'ali mulimu gwe okugezaako okukola omulimu omuzibu okukyusa Kutiiira Kutya okumufuula omuntu omulungi, okusinga bwe yali.' Amangu ago ne wabaawo ekyagwaawo nga tebategedde.

Bakutya baali oluggi balugadde era nga balusibye n'obwegendereza bwe baali bayingira mu kayumba, era n'oluggi nga balusibye balunywezezza n'eminyolo Kutya-Kungi aleme kubaddukako. Baali bali omwo ne bawulira eddoboozi ery'omuntu ewala ng'ajja ayimba, ng'ayimba olumu ku nnyimba z'omu kitabo ekikadde Kutya-Kungi lwe yali amanyi era lwe yayagalalanga ennyo. Omuyimbi ne yeyerula mpola n'ayitita ddala awo mu kakubo okumpi n'akayumba ke. Yali Omusumba Omukulu, era yali atwala kisibo kye mu kifo wekyanywËranga amazzi. Ebigambo bye yali ayimba ne biyita mu ddirisa ne biyingira mu kayumba mwe baali, wamu n'amaloboozi g'endiga n'omusinde gw'ebigere byazo era n'enfuufu entono nga zigenda zimugoberera.

Amaloboozi amalala gaali nga, agalagiddwa okusirika okumala akaseera, ne waba akasirikiriro ng'Omusumba ayimba ng'ayita ku kayumba. Abaali boogera munda mu kayumba ne basirika mangu ago, newaba akasiriikiriro nga tewali ayogera. Luno lwe luyimba Omusumba lwe yali ayimba:

Eddoboozi ly'omwagalwa wange!
Omutima gwange gwonna gusanyuse
Ng'abuukira ku nsozi
Ng'azinira ku busozi
Alinganga enjaza ento oba empeewo
Ayanguwa ng'empewo era ow'amaanyi
Alingiza mu ddirisa,
N'ampenya.

"Golokoka, gwenjagala, omulungi gyendi,
Ogende naange,
Omuzira ogwa toggo guweddewo,
N'enkuba eyise tetukyagiraba.
"Ebimuli birabise,
N'ebinyonyi biyimba,
Ne kamukuukulu ayita,

Mu nsi yonna ddumbi
"Emizabbibu gimulisiza
N'omutiini gwengeza etiini,
Golokoka gwenjagala omulungi gyendi,
Ogende nange.
"Lwaki ejjiba lyange lyekwËse?
Ng'ebintu ebirala byonna bisanyuka
Ooh, leka ndabe amasogo omulungi,
Ooh, leka mpulire eddoboozi lyo."
(Oluimba 2:8-14)

Kutya-Kungi bwe yali atudde munda mu kayumbake n'awulira eddoboozi ly'Omusumba ng'amubagulizaako, amuyita agende naye mu nsozi, n'alumwa nnyo mundaaye anti ng'atya okufuluma. Kano kekaali akabonero akeky„ma keyamusuubiza okukozesa, era yali amugaambye abeere mwetegefu okumugoberera mangu ddala ng'akawulidde. Kaakati ali awo, asibiddwa mu kayumbake, yetoolooddwa Okutya okuyitirivu, era nga tasobola nakumwanukula mu ngeri yonna, oba okumutegeeza nga bw'ali mu bwetaavu.

Waaliwo akaseera oluyimba nga lwakawulirwa, weyali asobolera okumukowoola amuyambe, kubanga buli omu yali atidde era nga bonna basirikiridde. Naye teyamanya nga ne Bakutya nabo baali batidde nnyo, nga balowooza ng'agenda kumuyita, singa yakikola baalidduse awatali kulwa nga tebafaayo kukuyita mu mulyango. Kyokka yali ajjudde nnyo okutya, natasobola kukozesa kakisa ako, ate mu kiseera kino ky'ali tekikyasoboka. Akaseera akaddako yagenda okuwulira ng'emikono gya Kweralikirira gimukutte gimunywezeza emimwa gwe, n'emikono emirala nga gimukutte gimunywËreza mu ntebe.

Bw'atyo Omusumba n'ayitawo ku kayumbake, "yalingizaako mu ddirisa, nga bw'ayimba oluyimba lwebalagaana, naye n'atafuna kuddibwaamu kwonna. Bwe yaggwerayo n'ebigambo by'oluyimba lwe, n'omusinde gw'ebigere by'endiga nga tegukyawulirwa, ne kizuula nga Kutya-Kungi yali azirise, kuba emikono gya kizibwewe Kweralikirira gy'ali gimuziyizza empewo nga takyassa. Ab'oluganda lwe ne baagala bakozese akakisa ako bamusitule bamutw„le ewaabwe nga tategeera, naye ate mu ssaawa eno, abantu webaali baviira ku mirimu gy„bwe ng'abadda mu maka gaabwe, kale nga tekisoboka. Ba Kutya ne basalawo bamukuumire mu kayumbake okutuusa ng'enzikiza ekutte, olwo basibe Kutya-Kungi bamutwale nga tategedde.

Bwe baamala okuteesa eky'okukola, ne bamutw„la ne bamwebasa ku kitanda kye, ne bamulinda okudda engulu, basengabe abamu ne bagenda mu ffumbiro okwefunirayo eby'okulya ebyaliyo bye baali bayinza okwetwalirako. Abasajja bo, baasigala muddiiro nga banyumya, Ggume yeyasigala akuuma mulwadde mu kisenge kye. Mpolampola Kutya-Kungi n'addamu akategeera, n'amanya nga yali azirise olw'okutya okungi. Teyakowoola kufuna buyambi, kuba yali amanyi nga baliraanwabe baali bakyali ku mirimu gyabwe, naye gye baali! Nedda, obudde bw'ali buyise okusinga bwe yali alowooza, anti yali aky'ali mu birowoozo, n'awulira Muky. Mulwanyi-Omuzira, muliraanwawe mu kayumba ke. Bwe yawulira eddoboozi lye, Kutya-Kungi ne yewaayo alekaane asobole okufuna obuyambi.

Ggume yali tategedde era nga simwetegefu ku kye yali agenda okukola, mangu ago Kutya-Kungi n'asituka n'ava ku buliri n'agenda muddirisa n'akowoola n'eddoboozi eddene nga bw'asobola n'ayita muliraanwawe nti, "Mulwanyi-Omuzira! Mulwanyi-Omuzira! Jjangu onyambe. Yanguwako. Nyamba!" Bwe yawulira amuyita, Muky. Mulwanyi-Omuzira n'akyuka n'alengera obwenyi bwa Kutya-Kungi mu ddirisa nga yenna ng'afuuse, ajjudde okutya ng'amuwenya n'omukono mu bwangu. Mu kaseera katono n'alengera ng'awaliwo amusika okumugya mu ddirisa nga n'entimbe z'omuddirisa zizibw„wo. Ekyo kyamumala bumazi, Muky. Mulwanyi-Omuzira ng'erinnya lye bweriri, n'adduka mangu n'agenda butereevu ku kayumba kaamuliraanwawe n'agezaako okuggulawo oluggi, naye yasanga lusibiddwa, n'atunula muddirisa n'alaba munda nga mujjudde ab'oluganda lwa Kutya-Kungi.

Muky. Mulwanyi-Omuzira yali tatiisibwatiisibwa mangu bw'atyo olw'abantu ye beyayitanga, "Ekikukuulu ky'Okutya." N'ayisa mangu omutwe gwe muddirisa, n'ayogera n'eddoboozi eritiisa nti, "Mwenna mufulume mu nnyumba eno mugende mu ddakiika eno. Bwe mutaafulume mu ddakiika ssatu, nja kuyita Omusumba Omukulu. Ennyumba eno yiye, era munakitegeera singa abasanga wano."

Ebigambo bye by'ali bitiisa. Oluggi ne baluggulawo mu bwangu, Bakutya ne beeyiwa ebweru nga tebakyategeera, nga n'abamu babuuka bannaabwe nga bagezaako okufuluma mu bwangu. Muky. Mulwanyi-Omuzira n'amwenya anti ng'alaba engeri gye baali baddukamu nga bonna baswadde. Eyaseembayo bwe yafuluma Muky. Mulwanyi-Omuzira n'ayingira mu kayumba n'agenda awaali Kutya-Kungi eyali ajjudde okutya n'okweraliikira. Mpolampola yategeezebwa engeri gye yabonyabonyezebwamu n'entegeka eyali ekoleddwa okumunyaga mukazi wattu obudde nga buzibye.

Muky. Mulwanyi-Omuzira ku lulwe yali tamanyi kutya kye kitegeeza, era yali agobye ekibiinja kya Bakutya ng'ali yekka. Yali ayagala okunenya omuwala omusiru, obuteerwanako mangu ng'ali n'ab'oluganda lwe, n'okubagoba nga tebanamukwatako. Naye bwe yamutunuulira mu maaso ge, yenna ng'akyuse ng'atunuza kutya nga n'okukankana akankana omubiri, n'ayebuuza nti, "Kirina mugaso ki okumunenya?" Tasobola kukikola mukazi wattu, naye alinga bo era akyalimu Okutya mu mubiri gwe, era omulabe bwakubeeramu gwe ekyo ky'olina okusuubira. N'ajjukira n'ayogera nti, 'Mazima ndowooza tewali mulala okugyako Omusumba yekka y'asobola okumuyamba.'

Kale mu kifo kyokumunenya n'amusiisitira, nga bw'amugamba n'ekisa ekingi ng'omuzadde nti, "Kaakati munnange, nga bw'oggwaamu okutya, kaηende mu ffumbiro nfumbeyo ekikopo kya ccaayi tunywe ffembi ojja kubeera bulungi mu bw„ngu." N'ayongerako na kino nti, 'Singano babadde baatutekeddeko ebbinika,' Bwe yayingira mu ffumbiro n'alaba ekitambaala nga kitekeeddwa ku meeza, ng'abaganyi abataali bayite nga bataddeko eby'okulya bye baali basibye okwetw„lira, bye baaleka mu bwangu nga tebesiimidde.

N'ayogera n'obusungu nti, "Bano bantu ki, ate n'amwenya bwe yajjukira engeri gye baddukamu nga bamulabye. We baamalira okunywa ccaayi waabwe, Muky. Mulwanyi-Omuzira ng'abalumbaganyi abo bonna abagobye mu nju, Kutya-Kungi ng'atandise okutereera mu mbeeraze. Enzikiza yali ekutte era nga n'obudde buyise nnyo, nga Kutya-Kungi tasobola kugenda ku kidiba kusisinka na Musumba kumutegeeza nsonga yali emugaanyi kumuddamu ng'amuyita. Yali alina kulinda budde kumala kukya.

Muky. Mulwanyi-Omuzira n'amugamba nti, 'nga bwe yali akooye ennyo, agenda yeebake.' Muliraanwawe n'amubikka bulungi, n'amunywegera n'amugumya. Yali ayagala amusuze ekiro ekyo, naye Kutya-Kungi, bwe yamanya ng'alina abagenyi, n'amugamba addeyo. Kyokka nga tanagenda, Muky. Mulwanyi-Omuzira n'amuteekera akadde awo ku kitanda kye, era n'amusuubiza nga bwe wabaawo ekimutiisa ekiro akube akadde, ab'ekika kya Mulwanyi-Omuzira kyonna bagya kumutuukako mangu ddala okumuyamba. Ebyo bwe byaggwa, n'agenda ne Kutya-Kungi n'asigala yekka mu kayumbake.


**** Ekitabo kino kya ddiba lya lupapula oluweweevu obulungi, era nga lugoonvu.****

ORDER FORM - Print out this .txt file for convenience if ordering by mail.

E-MAIL US -For any comments, critics, questions about these Books, or whatever you need to know about Luganda Ministry, please feel free to drop us a line. Send them to us at lugandaministry@yahoo.com


This entire site, including all pages, Copyright 2000-2001 Luganda Ministry. All rights reserved. Send mail to: Luganda Ministry, P.O. Box 5213, Glendale, Arizona, USA 85312.

Back
Next

 Copyright Policy  |  Privacy Policy  |  RSS Feeds  |  Site Directory  |  Site Map  |  The Store
 
Contact Lutherans Online
866-201-1522
RSS feed icon   Facebook icon   Twitter icon   LinkedIn icon   YouTube icon  
 
         
Thrivent Financial for Lutherans Contact Thrivent Financial
800-THRIVENT
(800-847-4836)
Appleton Office:
4321 N. Ballard Road
Appleton, WI 54919-0001 USA
Minneapolis Office:
625 Fourth Avenue S.
Minneapolis, MN 55415-1624 USA
 
         
Insurance products issued or offered by Thrivent Financial for Lutherans, Appleton, WI. Not all products are available in all states. Products issued by Thrivent Financial for Lutherans are available to applicants who meet membership, insurability, U.S. citizenship and residency requirements. Securities and investment advisory services are offered through Thrivent Investment Management Inc., 625 Fourth Ave. S., Minneapolis, MN 55415, a FINRA and SIPC member and a wholly owned subsidiary of Thrivent Financial for Lutherans. Thrivent Financial representatives are registered representatives of Thrivent Investment Management Inc. They are also licensed insurance agents of Thrivent Financial.
 
Trust and investment management accounts and services offered by Thrivent Trust Company are not insured by the FDIC or any other federal government agency, are not deposits or other obligations of, nor guaranteed by Thrivent Trust Company or its affiliates, and are subject to investment risk, including possible loss of the principal amount invested.