Contact Us  |  Help  |  Home 
Log In  |  Register 
[Home Page] [About Us] [Contact Us] [Organization Calendar] [The Books] [Organization Request Info] [Links] [Engero ez'omu Baibuli Ekitundu Ekisooka] [Engero z'omu Baibuli Ekitundu Ekyokubiri] [Bible Quiz] [Engero ez'omu Bibuli Ekitundu Ekyokusatu] [Abatume Ekkumi n'Ababiri Awamu ne Pawulo] [Olugendo lw'Omutambuze-Mukristaayo] [Ebigere by'Empeewo ku Bifo Ebigulumivu] [Devotions and Prayer] [Olugendo lw'Omutambuze - Nnamukristaayo] [Order Form] [Luganda Bible] [Hope Junior School]


Isaaya

 

Essuula 1

1 Okwolesebwa kwa Isaaya omwana wa Amozi, kwe yalabanga ku Yuda ne Yerusaalemi, mu mirembe gya Uzziya, Yosaiiiu, Akazi; ne Keezeekiya, bassekabaka ba Yuda.
2 Wulira ggwe Eggulu era tega okutu, ggwe Ensi, kubanga Mukama ayogedde: nayonsa ne ndera abaana, ne banjeemera,
3 Ente emanya nnyini yo, n'endogoyi emanya ekisibo kya mukama waayo: naye Isiraeri tamanyi, abantu bange tebalowooza.
4 Woowe eggwanga eririna ebibi, abantu abazitoowereddwa n'obutali butuukirivu, ezzadde er'abakola obubi, abaana aboonoona: balese Mukama, banyoomye Omutukuvu wa Isiraeri, basenguse bazze ennyuma.
5 Ekibaagaza ki okukubibwa nate, n'okweyongera ne mweyongera okujeema? omutwe gwonna gulwadde, n'omutima gwo nna guzirise.
6 Okuva munda w'ekigere okuruuka ku mutwe temuliimu bulamu; wabula ebiwundu, n'okuzimba, n'amabwa amavundu: tebibunizibwanga so tebisibibwanga so tebiteekebwangamu mafuta.
7 Easi yammwe ezise; ebibuga byammwe byokeddwa omuliro; ensi yammwe, ab'amawanga bagiriira mu maaso gammwe, era ezise, kubanga ab'amawanga bagisudde.
8 Era omuwala wa Sayuuni asigadde ng'ensiisira eri mu lusuku lw'emizabbibu, ng'ekikuumirwamu ekiri mu nnimiro y'emyungu, ng'ekibuga ekizingizibwa.
9 Mukama ow'eggye singa teyatulekerawo kitundu ekyafikkawo ekitono ennyo, twandibadde nga Sodomu, twandifaananye nga Ggomola.
10 Muwulire ekigambo kya Mukama, mmwe abafuga Sodomu; mutege okutu eri amateeka ga Katonda waffe, mmwe abantu ab'e Ggomola.
11 Zigasa ki ssaddaaka zammwe enkumu ze munsalira, bw'ayogera Mukama: nzikuse endiga ennume enjokye eziweebwayo n'amasavu g'ensolo ensibe; so sisanyukira musaayi gwa nte, newakubadde ogw'abaana b'endiga, newakubadde ogw'embuzi emmandwa.
12 Bwe mujja okulabika mu maaso gange, ani eyabasalira kino, okulinnyirira empya zange?
13 Temuleetanga nate bitone ebitaliimu; obubaane bwa muzizo gye ndi; emyezi egibonese ne ssabbiiti, okuyita amakuŋŋaaniro, sisobola butali butuukirivu na kukuŋŋaana kwa ddiini.
14 Emyezi gyammwe egibonese n'embaga zammwe eziragiddwa obulamu bwange bubikyawa: kwe kutegana gye ndi; nkooye okubigumiikirizanga.
15 Era bwe munaayanjalanga engalo zammwe, naabakwekanga amaaso gange: weewaawo, bwe munaasabanga ebigambo ebingi, siiwulirenga: emikono gyammwe gijjudde omusaayi.
16 Munaabe, mwerongoose; muggyengawo obubi bw'ebikolwa byammwe bive mu maaso gange; mulekeaga okukola obubi:
17 muyige okukolanga obulungi; mugobererenga eby'ensonga; mudduukirirenga ajoogebwa, musalenga omusango gw'atalina kitaawe, muwolerezenga nnamwandu.
18 Mujje nno, tuteese bw'ayogera Mukama: ebibi byammwe ne bwe biba ng'olugoye olumyufu, binaaba byeru ng'omuzira; ne bwe bitwakaala ng'ebendera, binaaba ng'ebyoya by’endiga.
19 Bwe munaagondanga nemuwulira; munaalyanga ebirungi eby’ensi:
20 naye bwe munaagaananga ne mujeemanga, munaaliibwanga n'ekitala: kubanga akamwa ka Mukama ke kakyogedde.
21 Ekibuga ekyesigwa nga kifuuse omwenzi! oyo eyajjulanga emisango egy'ensonga! obutuukirivu bwatuulanga mu ye, naye kaakano bassi.
22 Effeeza yo efuuse masengere, omwenge gwo gutabudwamu amazzi.
23 Abalangira bo bajeemu, mikwano gya babbi; buli muntu yeegomba enguzi, era agoberera empeera: tebasala musango gw'atalina kitaawe, so n'ensonga ya nnamwandu tetuuka gye bali.
24 Kyava ayogera Mukama, Mukama ow'eggye, Owaamaanyi owa Isiraeri, nti A, ndyeggyako abalabe bange, era ndiwalana eggwanga ku abo abankyawa:
25 era ndikuteekako omukono gwange, ne nnongooseza ddala amasengere go gonna, ne nziyawo essasi lyo lyonna:
26 era ndikomyawo abalamuzi bo ng'olubereberye, n'abateesa ebigambo byo nga mu kusooka: oluvannyuma oliyitibwa nti Ekibuga eky'obutuukirivu, ekibuga ekyesigwa.
27 Sayuuni alinunulibwa n'omusango n'abakyufu be n'obutuukirivu.
28 Naye okuzikirira kw'aboonoonyi n'abalina ebibi kulibeera wamu n'abo abaleka Mukama balimali bwawo.
29 Kubanga ensonyi ziri. bakwata olw'emivule gye mwego. mba, era muliswazibwa olw'ensukt ze mweroboza.
30 Kubanga muliba ng'omuvule oguwotoka amala. gala, era ng'olusuku omutali mazzi.
31 Era ow'amaanyi aliba ng'enfuuzi, n'omulimu gwe ng'olusasi olw'o. muliro; era byombi biriggiira wamu, so tewaliba abizikiza.
   

Essuula 2

[Ddayo waggulu]
1 Ekigambo Isaaya omwana wa Amozi kye yalaba ku Yuda ni Yerusaalemi.
2 Awo olulituuka mu nnaku ez'oluvannyuma, olusozi olw'ennyumba ya Mukama lulinywezebwa ku ntikko y'ensozi era luligulumizibwa okukira ensozi; era amawanga gonna galikulukutira ku lwo.
3 Era amawanga mangi agalyambuka ne googera nti Mujje, twambuke eri olusozi lwa Mukama, eri ennyumba ya Katonda wa Yakobo; era anaatuyigirizanga ku makubo ge, naffe tunaatambuliranga mu mpenda ze kubanga mu Sayuuni mwe mulifuluma amateeka, a'ekigambo kya Mukama mu Yerusaalemi.
4 Era aliramula mu mawanga, era alinenya abantu bangi: era baliweesa ebitala byabwe okubifuula enkumbi, n'amafumu gaabwe okugafuula ebiwabyo eggwanga teririyimusa kitala eri eggwanga linnaalyo, so tebaliyiga kulwana nate.
5 Mmwe ennyumba ya Yakobo mujje tutambulire mu musana gwa Mukama.
6 Kubanga waleka abantu bo ennyumba ya Yakobo, kubanga bajjudde empisa ezaava ebuvanjuba, era balaguzi nga Abafirisuuti, era bakubagana mu ngalo n'abaana b'ab'amawanga.
7 Era ensi yaabwe ejjudde effeeza n'ezaabu, so n'obugagga bwabwe tebuliiko gye bukoma; era ensi yaabwe ejjudde embalaasi, so n'amagaali gaabwe tegaliiko gye gakoma.
8 Era ensi yaabwe ejjudde ebifaananyi; basinza omulimu gw'emikono gyabwe bo, engalo zaabwe bo gwe zaakola.
9 Omukopi n'avuunama, n'omukulu yeetoowaza: kyova olema okubasonyiwa.
10 Yingira mu lwazi, weekweke mu nfuufu, mu maaso g'entiisa ya Mukama, ne mu maaso g'ekitiibwa ky'obukulu bwe;
11 Okulalambala kw'abantu kuliwanulibwa, n'amalala g'abantu galikutamizibwa, era Mukama yekka ye aligulumizibwa ku lunaku olwo.
12 Kubanga walibaawo olunaku lwa Mukama ow'eggye eri ebyo byonna ebyekuza ebirina amalala, n'eri byonna ebigulumizibwa; era biriwanulibwa:
13 n'eri enfugo zonna eza Lebanooni, empanvu ezigulumizibwa, n'eri emivule gyonna egya Basani;
14 n'eri ensozi zonna empanvu, n'eri obusozi bwonna obugulumizibwa;
15 n'eri buli kigo ekiwanvu, n'eri buli bbugwe aliko ekkomera; 16 n'eri ebyombo byonna eby'e Talusiisi, n'eri ebifaananyi byonna eby'okwesiima.
16 n'eri ebyombo byonna eby'e Talusiisi, n'eri ebifaananyi byonna eby'okwesiima.
17 Era okugulumizibwa kw'abantu kulikutamizibwa, n'amalala g'abantu galiwanulibwa; era Mukama yekka ye aligulumizibwa ku lunaku olwo.
18 N'ebifaananyi biriggweerawo ddala.
19 Era abantu baligenda mu mpuku ez'amayinja, ne mu bunnya obw'ettaka, okuva mu maaso g'entiisa ya Mukama, ne mu maaso g'ekitiibwa ky'obukulu bwe, bw'aligolokoka okukankanya ensi n'amaanyi.
20 Ku lunaku olwo omuntu alisuulira ddala ebifaananyi bye eby'effeeza n'ebifaananyi bye eby'ezaabu, bye baamukolera okusinzanga, eri emmese n'eri ebinyira;
21 bagende mu mpuku ez'amayinja, ne mu nkonko ez'amayinja amaatifu, okuva mu maaso g'entiisa ya Mukama, ne mu maaso g'ekitiibwa ky'obukulu bwe, bw'aligookoka okukankanya ensi n'amaanvi.
22 Muleke abantu, omukka gwabwe guli mu nnyindo zaabwe: kubanga ekinaaba kibalowoozesa kiki?
   

Essuula 3

[Ddayo waggulu]
1 Kubanga; laba, Mukama, Mukama ow’eggye, aggya ku Yerusaalemi ne ku Yuda ekibeesiguza n'ekyo kwe banyeredde, ekibeesiguza kyonna eky'emmere, n'ekibeesiguza kyonna eky'amazzi;
2 omusajja ow'amaanyi, n'omusajja omuzira; omulamuzi, ne nnabbi, n'omulaguzi, n'omukadde;
3 omukulu ow'amakumi ataano n'ow'ekitiibwa n'ateesa ebigambo ne ffundi ow'amagezi n'omufumu ow'obukabakaba.
4 Era ndireeta abaana okuba abalangira baabwe, era abaana abawere balibafuga.
5 Era abantu balijoogebwa, buli muntu munne, na buli muntu muliraanwa we: omuto aligirira ekyejo omukadde, n'omukopi aligirira ekyejo ow'ekitiibwa.
6 Omuntu bw'alikwata muganda we mil nnyumba ya kitaawe, ng'ayogera nti Ggwe olina eby'okwambala, beera mufuzi waffe ggwe, a'okubula kuno kubeere wansi w'omukono gwo:
7 ku lunaku olwa aliyimusa eddoboozi lye, ng'ayogera nti Sijja kuba muwonya; kubanga mu nnyumba yange temuli mmere newakubadde eby'okwambala: temujja kunfuula mufuzi wa bantu.
8 Kubanga Yerusaalemi kizikiridde, ne Yuda agudde: kubanga olulimi lwabwe n'ebikolwa byabwe biwakanya Mukama, okusunguwaza amaaso ag'ekitiibwa kye.
9 Ekifaananyi ky'obwenyi bwabwe kitegeeza nga gubasinze; era babuulira ekibi kyabwe nga Sodomu, tebakikisa. Zisanze obulamu bwabwe! kubanga beesasulidde bokka obubi.
10 Mwogere ku mutuukirivu nti anaabanga bulungi: kubanga banaalyanga ebibala by'ebikolwa byabwe.
11 Zisanze omubil anaabanga bubi: kubanga anaaweebwanga empeera y'engalo ze.
12 Abantu bange abaana abato be babajooga, era abakazi be babafuga. Woowe abantu bange, ababakulembera babakyamya, era bazikiriza ekkubo lyammwe eritambulirwamu.
13 Mukama ayimirira okuwoza, era ayimirira okusala omusango gw'amawanga.
14 Mukama alisala omusango gw'abakadde b'abantu be n'abalangira baabwe: Mmwe mwaliira ddala olusuku lw'emizabbibu; omunyago gw'omwavu guli mu nnyumba zammwe:
15 mubadde ki okubetentanga abantu bange, n'okusanga amaaso g'abaavu? bw'ayogera Mukama, Mukama ow'eggye.
16 Era nate Mukama yayogera nti Kubanga abawala ba Sayuuni balina amalala, era batambula nga balalambaza ensingo era nga balina amaaso ag'obukaba, nga batambula era nga bakumba bwe bagenda, era nga bavuza ebigere byabwe:
17 Mukama kyaliva alwaza ebikakampa obwezinge bw'otmitwe gw'abawala ba Sayuutu, Mukama n'abikkula ku nsonyi zaabwe.
18 Ku lunaku olwo Mukama aliggyako obuyonjo bw'amasamba gaabwe, n'enkundulu zaabwe, n'ebifaanana ng'emyezi;
19 n'emijugo, n'emisagga, n'engoye ez'oku maaso;
20 ebiremba, n'obudangadi, n'enneebagyo, n'obucupa obw'akaloosa, n'ensiriba;
21 empeta n'empeta ez'omu nnyindo;
22 engoye ez'amabala, n'eminagiro, n'essuuka, n'ensawo;
23 endabirwamu, ne bafuta, n'ebiremba, n'ezibikka ku mitwe.
24 Awo olulituuka awaali eby'akaloosa walibaawo ekivundu; n'awaali olwebagyo mugwa; n'awaali enviiri ensunsule ebulungi kiwalata n’awaali ekizibawo kwesiba kibukutu: awaali obuyonjo kwokebwa.
25 Abasajja bo ekitala kiribatta, n'abazira bo balifiira mu ntalo.
26 N'enzigi ze zirikaaba ziriwuubaala; era ye a1iba munaku, alituula ku ttaka.
   

Essuula 4

[Ddayo waggulu]
1 Era abakazi musanvu balyekwata ku musajja omu ku lunaku luji, nga boogera nti Tunaalyanga emmere yaffe ffe, era tunaayambalanga ebyambalo byaffe ffe: kyokka tutuumibwe erinnya lyo; otuggyeko ekivume kyaffe.
2 Ku lunaku luli ettabi lya Mukama liriba ddungi era lya kitiibwa, n'ebibala by'ensi biribawoomera nnyo abo abawonye ku Isiraeri, biriba birungi.
3 Awo olulituuka, oyo asigadde mu Sayuuni n'oyo abeera mu Yerusaalemi, aliyitibwa mutukuvu, ye buli muntu awandiikibwa mu balamu mu Yerusaalemi:
4 Mukama bw'aliba ng'anaalizza ddala empitambi y'abawala ba Sayuuni, era ng'amazeemu omusaayi gwa Yerusaalemi wakati mu kyo, olw'omwoyo ogw'omusango, era olw'omwoyo ogw'okwokya.
5 Era Mukama alitondera ku buli nnyumba ey'olusozi Sayuuni ekire n'omukka emisana, n'okumasamasa kw'omuliro ogwaka ekiro: kubanga waggulu ku kitiibwa kyonna kulibaako ekiritimbibwako.
6 Era walibaawo eweema okuba ekisiikirize emisana eri olubugumu, n'okuba ekiddukiro era omwekwekebwa
   

Essuula 5

[Ddayo waggulu]
1 Nnyimbire muganzi wange oluyimba olw'omwagalwa wange ebigambo by'olusuku lwe olw'emizabbibu. Muganzi wange yalina olusuku olw'emizabbibu ku lusozi olugimu ennyo:
2 n'alusimira olusalosalo, n'alusigulamu amayinja gaamu, n'alusimbamu omuzabbibu omulungi ennyo nnyini, n'aluzimbamu wakati ekigo, era n'aIusimamu essogolero: n'asuubira lubale zabbibu, ne lubala zabbibu ez'omu nsiko.
3 Kale nno, mmwe abatuula mu Yerusaalemi nammwe abasajja ba Yuda, mutusalire omusango, mbeegayiridde, nze n'olusuku lwange olw'emizabbibu.
4 Nandiyinzizza kukola ki nate olusuku lwange olw'emizabbibu kye nnalema okulukola? Bwe nnasuubira lubale zabbibu, ekyalubaza zabbibu ez'omu nsiko kiki?
5 Kale nno kaakano ka mbategeeze kye nnaakola olusuku lwange olw'emizabbibu: naggyako olukomera lwalwo, era luliriirwa ddala; naamenyera ddala ekisaakaate kyalwo, era lulirinnyrirwa ddala:
6 era naaluzisa; tebaalusalirenga so tebaalulimenga; naye mulimeramu emyeramannyo n'amaggwa: era ndiragira ebire obutalutonnyesangako nkuba.
7 Kubanga olusuku olw'emizabbibu olwa Mukama ow'eggye ye nnyumba ya Isiraeri, n'abasajja ba Yuda kye kisimbe kye ekimusanyusa: yasuubira okusala ensonga, naye, laba, kujooga; obutuukirivu, naye, laba, kukaaba.
8 Zibasanze abo abagatta ennyumba n'ennyumba ginnaayo, abongera ennimiro ku nnimiro ginnaayo, okutuusa ebbanga lwe liggwaawo, nammwe n'okutuula ne mutuula mwekka wakati mu nsi!
9 Mu matu gange ayogera Mukama ow'eggye nti Mazima ennyumba nnyingi ziriba bifulukwa, ennene era ennungi, nga tewaliazituulamu.
10 Kubanga. ensuku ez'emizabbibu kkumi zinaavangamu ekibbo kimu, n'ogusera ogw'ensigo gunaavangamu ekibbo kimu kyokka:
11 Zibasanze abo abakeera enkya mu makya okugolokoka, bagoberere ekitamiiza; abalwawo ekiro okutuusa ettumbi omwenge ne gubalalusa!
12 Era ennaaga n'entongooli, ebitaasa n'endere, n'omwenge: biri mu mbaga zaabwe: naye tebalowooza mulimu gwa Mukama, so tebannassa ku mwoyo okukola kw'engalo ze.
13 Abantu bange kyebavudde bagenda mu bunyage, olw'okubulwa okumanya: n'abasajja baabwe ab'ekitiibwa balumiddwa enjala, n'ekibiina kyabwe ennyonta ebasse.
14 Amagombe kyegavudde gagaziya okwegomba kwago, era gaasamizza akamwa kaago ekitayasamizika: n'ekitiibwa kyabwe n'obungi bwabwe n'oluyoogaano lwabwen'oyo asanyuka mu bo bikka omwo.
15 Era omukopi akutamizibwa, n'omukulu atoowazibwa, n'amaaso g'ab'amalala gatoowazibwa:
16 naye Mukama ow'eggye agulumizibwa olw'omusango, era Katonda Omutukuvu atukuzibwa olw'obutuukirivu.
17 Abaana b'endiga ne ziryoka zirya nga mu ddundiro lyazo, era ebifo ebyazika eby'abagevvu abatambuze balibirya.
18 Zibasanze abo abawalula obutali butuukirivu n'akagwa ak'obulimba, abawalula ekibi nga n'omugwa ogw'eggaali:
19 aboogera nti Ayanguyeeko, asambyeka omulimu gwe tugulabe: n'okuteesa kw'Omutukuvu wa Isiraeri kusembere kutuuke tukumanye!
20 Zibasanze abo abayita ekibi ekirungi, n'ekirungi ekibi; abateeka ekizikiza mu kifo ky'omusana, n'omusana mu kifo ky'ekizikiza; abateeka okukaawa mu kifo ky'okuwoomerera, n'okuwoomerera mu kifo ky'okukaawa!
21 Zibasanze abo abalina amagezi mu maaso gaabwe bo, era abakabakaba mu kulaba kwabwe bo!
22 Zibasanze abo abalina amaanyi okunywa omwenge, era abazira okutabula ekitamiiza:
23 abateeka obutuukirivu ku babi olw'enguzi; era abaggya ku mutuukirivu obutuukirivu bwe!
24 Kale ng'olulimi lw'omuliro bwe lyokya ensambu, era ng'essubi ekkalu bwe likka mu muliro, bwe kityo ekikolo kyabwe kiriba ng'ekivundu, n'ekimuli kyabwe kirifuumuuka ng'enfuufu: kubanga baagaananga amateeka ga Mukama ow'eggye, era baanyoomanga ekigambo eky'Omutukuvu wa Isiraeri.
25 Obusungu bwa Mukama kyebuvudde bubuubuuka ku bantu be, era agolodde omukono gwe okubalumba, era abasse, ensozi ne zikankana; n'emirambo gyabwe ne giba ng'ebisasiro wakati mu nguudo Ebyo byonna bimaze okubaawc naye obusungu bwe tebunnaba kuggibwawo, naye omukono gwe gukyagoloddwa.
26 Era aliyimusiza amawanga ebendera ng'ayim, wala, alibakoowoola ng'ayima ku nkomerero y'ensi: era, laba, balyanguwa mangu okujja:
27 tewaliba mu bo alikoowa newakubadde alyesittala; tewaliba alibongoota newakubadde alyebaka; so n'olukoba lwe besiba terulisumulukuka, so n'olukoba lw'engatto zaabwe terulikutuka:
28 obusaale bwabwe bwa bwogi, n'emitego gyabwe gyonna mireege; ebinuulo by'embalaasi zaabwe biribalibwa ng'amayinja ag'embaalebaale, ne bannamuziga baabwe nga kibuyaga;
29 okulira kwa bwe kuliba ng'empologoma, balirira ng'empologoma ento: weewaa wo, balirira, balikwata omuyiggo gwabwe, ne bagitwalira ddala mirembe, so tewalibaawo aliwonya.
30 Era baliwuuma ku bo ku lunaku luli ng'ennyanja bw'ewuuma: era omuntu bw'atunuulira olukalu, laba ekizikiza n'ennaku, n'omusana guzikizibwa mu bire byalwo.
   

Essuula 6

[Ddayo waggulu]
1 Mu mwaka kabaka Uzziya, mwi yafiira nalaba Mukama ng'atuddi ku ntebe, empanvu eyagulumizibwa, n'ekirenge kye nga kijjula yeekaalu.
2 Basseraafi baali bayimiridde waggulu we: buli omu yalina ebiwaavaatiro mukaaga; ebibiri yabibikka mu maaso ge, n'ebibiri yabibikka ku bigere bye, n'ebibiri yabibuusa
3 Omu n'ayogerera waggulu eri nunne ng'agamba nti Mutukuvu, nutukuvu, mutukuvu, Mukama w'eggye: ensi yonna ejjudde ekiiibwa kye.
4 N'emisingi gy'emiyango ne ginyeenyezebwa olw'edoboozi ly'oyo eyayogerera waggulu, ennyumba n'ejjula omukka.
5 Ne ndyoka njogera nti Zinsanze! kubanga nfudde; kubanga ndi muntu wa mimwa egitali mirongoofu, era ntuula wakati mu bantu ab'emimwa egitali mirongoofu: kubanga amaaso gange galabye Kabaka, Mukama ow'eggye.
6 Omu ku basseraafi n'alyoka abuuka n'ajja gye ndi, ng'alina eryanda eryaka nu ngalo ze, lye yali aggye ku kyoto ne nnamagalo:
7 n'alikomya ku kamwa kange, n'ayogera nti Laba, lino likomye ku mimwa gyo; era obutali butuukirivu bwo buggidwawo, n'ekibi kyo kirongoosebbwa.
8 Ne mpulira eddoboozi ya Mukama, nga lyogera nti Naatuma ani, era anaatugendera ani? Ne ndyoka njogera nti Nze nzuuno: ntuma nze.
9 N'ayogera nti Genda obuulire abantu bano nti Okuwulira muwulire naye temutegeera; n'ozulaba mulabe, naye temwetegereza.
10 Savuwaza omutima gw'abantu bano, era ggala amatu gaabwe, era siba amaaso gaabwe; baieme okulaba n'amaaso gaabwe, n'okuwulira n'amatu gaabwe, n'okutegeera n'omutima gwabwe, n'okukyuka, okuwonyezebwa.
11 Ne ndyoka njogera nti Mukama wange, birituusa wa okubaawo? N'addamu nti Okutuusa ebibuga lwe birizika nga tewali abituulamu, ne mu nnyumba nga temuli muntu ensi n'ezirikira ddala,
12 era Mukama ng’ajjuludde abantu ng'abatutte wala, n’ebifulukwa nga bingi wakati mu nsi.
13 Era ekitundu eky'ekkumi bwe kiriba nga kikyasigadde omwo, kiririirwa ddala nate: ng'omumyuliru era ng'omuvule ekikolo kyagyo nga kisigadde, bwe gitemebwawo; bwe kityo ensigo entukuvu kye kikolo kyayo.
   

Essuula 7

[Ddayo waggulu]
1 Awo olwatuuka ku mirernbe gya Akazi omwana wa Yosamu, omwana wa Uzziya, kabaka wa Yuda, Lezini kabaka We Busuuli, ne Peka omwana wa Lemaliya, kabaka wa Isiraeri, ne bayambuka e Yerusaalemi okukirwanyisa; naye ne bakiremwa.
2 Ne babuulira ennyumba ya Dawudi nga boogera nti Obusuuli butabaganye ne Efulayimu. Omutima gwe ne gunyeenyezebwa, n'omutima gw'abantu be, ng'emiti egy'omu kibira bwe ginyeenyezebwa n'empewo.
3 Mukama n'alyoka agamba Isaaya nti Fuluma kaakano osisinkane Akazi, ggwe ne Seyalusayubu omwana wo, olusalosalo olw'ekidiba eky'engulu we lukoma, mu luguudo olw'ennimiro y'omwozi w'engoye;
4 omugambe nti Weekuume obeerewo bubeezi; torya, so n'omutima gwo teguzirikanga olw'emimuli gino gyombi eginyooka egiggweeredde, olw'obusungu obukambwe obwa Lezini n'Obusuuli, n'obw'omwana wa Lemaliya.
5 Kubanga Obusuuli buteesezza obubi ku ggwe, ne Efulayimu, n'omwana wa Lemaliya, nga boogera nti
6 Twambuke tulumbe Yerusaalemi, tukiteganye, twewagulire omwo ekituli, tusseewo kabaka wakati mu kyo, omwana wa Tabeeri:
7 bw'atyo bw'ayogera Mukama Katonda nti Tekirinywera so tekirituukirira.
8 Kubanga omutwe gw'Obusuuli ye Ddamasiko n'omutwe gw'e Ddamasiko ye Lezini: era emyaka enkaaga n'etaano nga teginnaggwaawo Efulayimu alimenyekamenyeka obutaba ggwanga:
9 n'omutwe gwa Efulayimu ye Samaliya, n'omutwe gw'e Samaliya ye mwana wa Lemaliya. Bwe muligaana okukkiriza, mazima temulinywezebwa.
10 Awo Mukama n'agamba nate Akazi nti
11 Weesabire Mukama Katonda wo akabonero: kasabe oba mu buziba oba mu bbanga waggulu.
12 Naye Akazi n'ayogera nti Siisabe so siikeme Mukama. Naye Akazi n'ayogera nti Siisabe so siikeme Mukama.
13 N'ayogera nti Muwulire kaakano, mmwe ennyumba ya Dawudi; kigambo kitono gye muli mmwe okukooya abantu n'okwagala ne mwagala okukooya ne Katonda wange era?
14 Mukama yennyini kyaliva abawa akabonero; laba, omuwala atamanyi musajja aliba olubuto, alizaala omwana wa bulenzi era alituumwa erinnya lye Imanueri.
15 Omuzigo n'omubisi gw'enjuki alibirya, bw'amanya okugaana ebibi, n'okweroboza ebirungi.
16 Kubanga omwana nga tannamanya kugaana bibi n'okweroboza ebirungi, ensi gy'okyawaamu bakabaka baayo bombi erirekebwa.
17 Mukama alikuleetako ne ku bantu bo, ne ku nnyumba ya kitaawo, ennaku ezitajjanga, okuva ku lunaku Efulayimu lwe yaviiramu mu Yuda; kabaka w'e Bwasuli.
18 Awo olulituuka ku lunaku luli Mukama alikoowoola ensowera eri mu bifo eby'ewala eby'emigga egy'e Misiri, n'enjuki eri mu nsi y'e Bwasuli.
19 Era birijja, era biriwummulira byonna mu biwonvu ebyazika, ne mu bunnya obw'omu mayinja, ne ku maggwa gonna, ne ku malundiro gonna.
20 Ku lunaku luli Mukama alimwesa akamwano akagule akali mu bifo eby'emitala w'omugga, ye Kabaka w'e Bwasuli, omutwe n'obwoya obw'oku bigere: era kalimalawo n'ekirevu.
21 Awo olulituuka ku lunaku luli omusajja aliriisa ente eyonsa ento n'endiga bbiri;
22 Awo olulituuka ku lunaku luli, buli kifo awaabanga emizabbibu olukumi, buli gumu gwa sekeri lukumi, kiriba kya myeramannyo n'amaggwa.
23 Awo olulituuka ku lunaku luli, buli kifo awaabanga emizabbibu olukumi, buli gumu gwa sekeri lukumi, kiriba kya myeramannyo n'amaggwa.
24 Balijjayo nga balina obusaale n'omutego; kubanga ensi yonna eriba myeramannyo, n'amaggwa.
25 N'ensozi zonna ze baalimanga n'enkumbi, tolituukayo olw'okutya emyeramannyo n'amaggwa, naye waliba wa kusindikayo nte, n'okulinnyirirwa endiga.
   

Essuula 8

[Ddayo waggulu]
1 Mukama n'aŋŋamba nti Weetwalire ekipande ekinene, okiwandiikeko n'ekkalaamu ey'omuntu nti Kya Makeru-salalukasu-bazi;
2 nange ndyetwalira abajulirwa abeesigwa okuwandiika, Uliya kabona, ne Zekkaliya omwana wa Yeberekiya.
3 Ne ŋŋenda eri nnabbi omukazi; n'aba lubuto, n'azaala omwana wa bulenzi. Mukama n'alyoka aŋŋamba nti Mutuume erinnya Makeru-salalu-kasu-bazi.
4 Kubanga omwana nga tannamanya kukaaba nti Kitange, era nti Mmange, obugagga obw'e Ddamasiko n'omunyago ogw'e Samaliya birinyagibwa mu maaso ga kabaka w’e Bwasuli.
5 Mukama n'ayogera nange nate omulundi omulala nti
6 Kubanga abantu bano bagaanyi amazzi ga Sirowa agatambula empola, ne basanyukira Lezini n'omwana wa Lemaliya;
7 kale nno, laba, Mukama ayambusa ku bo amazzi ag'Omugga, ag'amaanyi era amangi, kabaka w’e Bwasuli n'ekitiibwa kye kyonna: era alyambuka okusukkirira ensalosalo ze zonna, era aliyiika ku ttale lye lyona:
8 era alyeyongera n'akulukuta okutuuka mu Yuda; alyanjaala aliyitamu; alikoma ne mu bulago; n'okugololwa kw'ebiwaawaatiro bye kulijjuza ensi yo, ggwe Imanueri; nga bwe yenkana obugazi.
9 Muyoogaane, mmwe amawanga, mulimenyekamenyeka; era mutege amatu, mmwe mwenna ab'omu nsi ez'ewala: mwesibe, mulimenyekamenyeka; mwesibe, mulimenyekamenyeka.
10 Muteese ebigambo wamu, birizikirizibwa; mwogere ekigambo, tekiriyimirira: kubanga Katonda ali wamu naffe.
11 Kubanga Mukama yayogera nange bw'atyo n'omukono ogw'amaanyi, n'anjigiriza nneme okutambulira mu kkubo ly'abantu bano, ng'ayogera nti
12 Temwogera nti Okwekoba, mu byonna eggwanga lino bye liryogerako nti Okwekoba; so temutya kutya kwabwe, so temutekemuka.
13 Mukama ow'eggye oyo gwe muba mutukuza; era oyo abeerenga entiisa yammwe, era oyo abeerenga ekitiibwa kyammwe.
14 Era aliba ng'awatukuvu; naye aliba ng'ejjinja ery'okwesittalwako era olwazi olugwisa eri ennyumba zombi eza Isiraeri, okuba omutego era ekyambika eri abo abatuula mu Yerusaalemi.
15 Era bangi abaliryesittalako, ne bagwa, ne bamenyeka, ne bategebwa, ne bakwasibwa.
16 Sibira ddala okutegeeza, osse akabonero ku mateeka mu bayigirizwa bange.
17 Era ndirindirira Mukama, akweka amaaso ge ennyumba ya Yakobo, ne mmunoonya.
18 Laba, nze n'abaana Mukama b'ampadde bya kuba bubonero era bya kuba byewuunyo mu Isiraeri ebiva eri Mukama ow'eggye, atuula ku lusozi Sayuuni.
19 Era bwe babagambanga nti Mubuuze abo abaliko emizimu n'abafiunu, abalira ng'ennyonyi era abajoboja: eggwanga tekirigwanira kubuuza Katonda waabwe? Ebigambo by'abalamu bandibibuuzizza bafu?
20 Tudde eri amateeka n'obujulirwa! oba nga teboogera ng'ekigambo ekyo bwe kiri, mazima obudde tebugenda kubakeerera.
21 Era baliyita mu nsi, nga beeraliikirira nnyo nga balumwa enjala: awo olunaatuukanga bwe banaalumwanga enjala, banaanyiiganga ne bakolima nga balayira kabaka waabwe ne Katonda waabwe, ne batunuza amaaso gaabwe: waggulu:
22 era banaatunuuliranga ensi, era, laba, nnaku n'ekizikiza, ekizikiza el.y'okubonyaabonyezebwa; era baligoberwa mu kizikiza ekikutte.
   

Essuula 9

[Ddayo waggulu]
1 Naye tewaliba kizikiza eri oyo eyali abonyaabonyezebwa. Edda yanyoomya ensi ya Zebbulooni n'ensi ya Nafutaali, naye mu kiseera eky'oluvannyuma agifudde ya kitiibwa, awali ekkubo ery'ennyanja, emitala wa Yoludaani, Ggaliraaya ey'amawanga.
2 Abantu abaatambuliranga mu kizikiza balabye omusana mungi: abo abaatuulanga mu nsi y'ekisiikirize ky'okufa, omusana gubaakidde bo.
3 Oyazizza eggwanga, oyongedde ku ssanyu lyabwe: basanyukira mu maaso go ng'essanyu bwe liri ery'omu makungula, abasajja nga bwe basanyuka nga bagereka omunyago.
4 Kubanga ekikoligo ekyamuzitoowerera, n'omuggo ogw'oku kibegabega kye, lwe luga lw'omujoozi we, obimenye nga ku lunaku lwa Midiyaani.
5 Kubanga ebyokulwanyisa byonna eby'oyo alina ebyokulwanyisa mu luyoogaano, n'ebyambalo ebikulukuunyizibbwa mu musaayi, biriba bya kwokebwa bwokebwa, okuba enku ez'omuliro.
6 Kubanga omwana atuzaaliddwa ffe, omwana ow'obulenzi aweereddwa ffe; n'okufuga kunaabanga ku kibegabega kye: n'erinnya lye liriyitibwa nti Wa kitalo, Ateesa ebigambo, Katonda ow'amaanyi, Kitaffe ataggwaawo, Omukulu ow'emirembe.
7 Okufuga kwe n'emirembe tebirikoma kweyongeranga, ku ntebe ya Dawudi, ne ku bwakabaka bwe, okubunyweza, n'okubuwanirira n'omusango n'obutuukirivu okuva leero n'emirembe n'emirembe. Obunyiikivu bwa Mukama ow'eggye bulituukiriza ekyo.
8 Mukama yaweereza Yakobo ekigambo, ne kigwa ku Isiraeri.
9 Era abantu bonna balimanya, Efulayimu n'abatuula mu Samaliya, aboogera n'amalala n'obukakanyavu bw'omutima nti
10 Amatoffaali gagudde, naye tulizimbya amaiinja amateme: enkoma zitemeddwawo, naye tlilizifuula ensambya.
11 Mukama kyaliva agulumiza abalabe ba Lezini okumulumba, era alisaakiriza abalabe be;
12 Abasuuli mu maaso, n'Abafirisuuti emabega; era balirya Isiraeri n'akamwa akayasamye. Ebyo byonna bimaze okubaawo naye obusungu bwe tebunnakyusibwa okubavaako, naye omukono gwe gukyagoloddwa.
13 Naye abantu tebaakyukiranga oyo eyabakuba, so tebaaaoonyanga Mukama wa ggye.
14 Mukama kyaliva asalako ku Isiraeri omutwe n'omukira, olukindo n'ekitoogo, ku lunaku lumu.
15 Omusajja omukadde era ow'ekitiibwa gwe mutwe; ne anabbi ayigiriza eby'obulimba gwe mukira.
16 Kubanga abakulembera abantu bano babakyamya; n'sbo be bakulembera bazikirizibwa.
17 Mukama kyativa alema okusanyukira abavubuka baabwe, so tali. saasira basina baabwe abafiiriddwa bakitaabwe ne bannamwandu baa bwe: kubanga buli muntu avvoola era akola ebibi, na buli kamwa koogera eby'obusiru. Ebyo byonna bimaze okubaawo naye obusung bwe tcbunnakyusibwa okubavaako naye omukono gwe gukyagoloddwa.
18 Kubanga obubi bwokya ng'omuliro; gumalawo emyeramannyo n'amaggwa: weewaawo, gukoleera mu bisaka eby'omu kibira, ebire eby'omukka ebikutte ne binyooka ne birinnya waggulu.
19 Olw'obusungu bwa Mukama ow'eggye ensi eyiiridde ddala: era n'abantu bali ng'enku ez'omuliro; tewali asonyiwa muganda we.
20 Era omu alisika ku mukono ogwa ddyo, n'alumwa enjala; era alirya ku mukono ogwa kkono, so tebalikkuta: balirya buli muntu ennyama ey'onukono gwe ye:
21 Manase Efuayimu; ne Efulayimu Manase: era ombi wamu balikyawa Yuda. Ebyo byonna bimaze okubaawo naye obusungu bwe tebunnakyusibwa okubavaako, naye omukono gwe gukyagoloddwa.
   

Essuula 10

[Ddayo waggulu]
1 Zibasanze abo abateeka amateeka agatali ga butuukirivu, n'abawandiisi abawandiika obukyamu:
2 okugoba abanaku baleme okusalirwa omusango, n'okubanyagako ebyabwe abaavu ab'omu bantu bange, bannamwandu babeere munyago gwabwe, era abafiiriddwa bakitaabwe babafuule omuyiggo gwabwe.
3 Era mulikola mutya ku nnaku olw'okujjirwa, ne mu kuziirizibwa okuliva ewala? mulidduira eri ani okubeerwa? era mulireka wa ekitiibwa kyammwe?
4 Balikutama bukutami wansi w'abasibe, era baligwa wansi w'abattiddwa. Ebyo byonna bimaze okubaawo naye obusungu bwe tebunnakyusibwa okubavaako, naye omukono gwe gukyagoloddwa.
5 Ggwe Omwasuli, oluga olw'ousungu bwange, omuggo oguli mu igalo zo kye kiruyi kyange!
6 Ndinutuma okulumba eggwanga erivoola, era ndimulagira ku bantu baliko obusungu bwange, okunyaga omunyago, n'okunyaga omuyiggo, n’okubalinnyirira wansi ng'ebitoomi by'omu nguudo.
7 Naye tagenderera kukola bw'atyo, so n'omutima gwe tegulowooza bwe gutyo; naye kiri mu mutima gwe okuzikiiza, n'okumalawo amawanga si matono.
8 Kubanga ayogera nti Abakulu bange bonna si bakabaka?
9 Kalino tekifaanana Kalukemisi? Kamasi tekifaanana Alupadi? Saaaliya tekifaanana Ddamasiko?
10 Ng'omukono gwange bwe gwatuuka ku nsi za bakabaka ezisinza ebifaananyi, ezaalina ebifaananyi ebibajje ebyasinga ebyo ebiri mu Yerusaalemi ne mu Samaliya;
11 nga bwe nnakola Samaliya ne sanamu zaakyo, sirikola bwe ntyo Yerusaalemi ne sanamu zaakyo?
12 Kyekiriva kituuka, Mukama bw'aliba ng'amalidde ddala omulimu gwe gwonna ku lusozi Sayuuni ne ku Yerusaalemi, me ndyoka mbonereza ebibala by'omutima omukakanyavu ogwa kabaka w’e Bwasuli, n'amalala g'amaaso ge amagulumivu.
13 Kubanga yayogera nti Olw'amaanyi g'omukono gwange nakikola, n'olw'amagezi gange; kubanga ndi mukabakaba: era najjulula ensalo ez'amawanga, ne nnyaga obugagga bwabwe, ne ntoowaza ng'omusajja omuzira abo abatuula ku ntebe:
14 era omukono gwange guvumbudde obugagga obw'amawanga ng'ekisu; era ng'omuntu bw'akuŋŋaanya amagi amazire, bwe ntyo bwe naakuŋŋaanyanga ensi zonna: so tewali eyayanjuluza ekiwaawaatiro, newakubadde eyayasamya akamwa, newakubadde eyakaaba.
15 Embazzi eryenyumiriza eri oyo agitemya? omusumeeno gulyekuza eri oyo agunyeenya? kwenkana oluga nga lunyeenyezza abo abalulonda, oba omuggo nga gusitudde atali muti.
16 Mukama, Mukama ow'eggye, kyaliva aweereza obukovvu mu basajja be abagevvu; era wansi w'ekitiibwa kye we alikolera okwokya ng'okwokya kw'omuliro.
17 N'omusana gwa Isiraeri guliba mu kifo ky'omuliro, n'Omutukuvu we aliba mu kifo ky'okwaka: kale gulyokya gulimalawo amaggwa ge n'emyeramannyo gye ku lunaku lumu.
18 Era alimalawo ekitiibwa ky'ekibira kye, n'eky'ennimiro ye engimu, obulamu era n'omubiri: kale kiriba ng'omukwasi w'ebendera bw'azirika.
19 N'emiti egy'omu kibira kye egirisigalawo giriba mitono, omwana omuto n'okuyinza n'ayinza okugiwandiika.
20 Awo olulituuka ku Iunaku luli, abaliba nga bafisseewo ku Isiraeri, n'abo abaliba nga bawonye ku nnyumba ya Yakobo, nga tebakyesigama nate ku oyo eyabakuba: naye balyesigama ku Mukama, Omutukuvu wa Isiraeri, mu mazima.
21 Ekitundu ekirifikkawo kirikomawo, ekirifikkawo ku Yakobo, eri Katonda ow'amaanyi.
22 Kubanga abantu bo Isiraeri newakubadde nga baliba ng'omusenyu ogw'ennyanja, kitundu butundu ekirifikkawo ku bo kye kirikomawo: okutuukiriza kwateesebwa, okusukkirira n'omusango ogw'ensonga.
23 Kubanga okukomekkereza, era okwateesebwa, Mukama, Mukama ow'eggye kw'alikola wakati mu nsi yonna.
24 Kyava ayogera Mukama, Mukama ow'eggye nti Mmwe abantu bange abatuula mu Sayuuni, temutyanga Asuli: newakubadde ng'akukuba n'oluga, n'akugalulira omuggo gwe, ng'empisa y'e Misiri bw'eri.
25 Kubanga akaseera kakyali katono nnyo, okunyiiga kulyoke kutuukirizibwe n'obusungu bwange mu kuzikirisa kwabwe.
26 Awo Mukama ow'eggye alimuleetako ekibonoobono, nga bwe byali Midiyaani bwe yattirwa awali olwazi lwa Olebu: n'oluga lwe luliba ku nnyanja, era alirugalula ng'empisa y'e Misiri bw'eri.
27 Awo olulituuka ku lunaku luli, omugugu gwe guliva ku kibegabega kyo, n'ekikoligo kye mu bulago bwo, n'ekikoligo kirizikirizibwa olw'okufukibwako amafuta.
28 Atuuse e Yayasi, ayise mu Miguloni; e Mikumasi gy'aterekera emigugu gye:
29 bavvuunuse awavvuunukirwa; basuze e Geba: Laama akankana; Gibeya wa Sawulo adduse.
30 Yogerera waggulu n'eddoboozi lyo, ggwe muwala wa Gallimu! wulira, ggwe Layisa! Ggwe Anasosi asaasirwa!
31 Madumena mudduse; abatuula mu Gebimu beekuŋŋaanya okudduka.
32 Ku lunaku luno olwa leero anaasula Enobu: omukono gwe agugalulira olusozi lwa muwala wa Sayuuni, olusozi lwa Yerusaalemi.
33 Laba, Mukama, Mukama ow'eggye, alitema amatabi n'entiisa n'abawanvu abawagguufu balitemerwa ddala, n'abagulumivu balikka kkanyizibwa.
34 Era alimalawo n'ekyuma ebisaka eby'omu kibira, ne Lebanooni aligwa olw'ow'amaanyi.
   

Next
Back
 Copyright Policy  |  Privacy Policy  |  RSS Feeds  |  Site Directory  |  Site Map  |  The Store
 
Contact Lutherans Online
866-201-1522
RSS feed icon   Facebook icon   Twitter icon   LinkedIn icon  
 
         
Thrivent Financial Contact Thrivent Financial
800-THRIVENT
(800-847-4836)
Appleton Office:
4321 N. Ballard Road
Appleton, WI 54919-0001 USA
Minneapolis Office:
625 Fourth Avenue S.
Minneapolis, MN 55415-1624 USA
 
         
Insurance products issued or offered by Thrivent Financial, the marketing name for Thrivent Financial for Lutherans, Appleton, WI. Not all products are available in all states. Products issued by Thrivent Financial are available to applicants who meet membership, insurability, U.S. citizenship and residency requirements. Securities and investment advisory services are offered through Thrivent Investment Management Inc., 625 Fourth Ave. S., Minneapolis, MN 55415, a FINRA and SIPC member and a wholly owned subsidiary of Thrivent. Thrivent Financial representatives are registered representatives of Thrivent Investment Management Inc. They are also licensed insurance agents/producers of Thrivent. Fee-based investment advisory services are available through qualified investment advisor representatives only.
 
Trust and investment management accounts and services offered by Thrivent Trust Company are not insured by the FDIC or any other federal government agency, are not deposits or other obligations of, nor guaranteed by Thrivent Trust Company or its affiliates, and are subject to investment risk, including possible loss of the principal amount invested.