Peetero, omutume wa Yesu Kristo, eri abalonde abaasaasaana abatambuze ab'omu Ponto, Ggalatiya, Kapadokiya, Asiya ne Bisuniya,
2
nga bwe yasooka okutegeera Katonda Kitaffe, mu kutukuza kw'Omwoyo, olw'okugonda n'okumansirwako omusaayi gwa Yesu Kristo: ekisa n'emirembe byeyongerenga gye muli.
3
Yeebazibwe Katonda era Kitaawe wa Mukama waffe Yesu Kristo, eyatuzaala omulundi ogw'okubiri, ng'okusaasira kwe okungi bwe kuli, tubeerenga n'essuubi eddamu, olw'okuzuukira kwa Yesu Kristo mu bafu,
4
tuyingire mu busika obutaggwaawo, obutalina kko, obutawotoka, obwabaterekerwa mmwe mu ggulu,
5
amaanyi ga Katonda be gakuuma olw'okukkiriza okufuna obulokozi obweteeseteese okubikkulibwa mu biro eby'enkomerero.
6
Obwo bwe mujagulizaamu, newakubadde nga mwanakuwazibwa mu kukemebwa okutali kumu akaseera akatono kaakano, oba nga kibagwanira,
7
okugezebwa kw'okukkiriza kwammwe okusinga omuwendo ezaabu eggwaawo, newakubadde ng'egezebwa mu muliro, kulyoke kulabike okuleeta ettendo n'ekitiibwa n'okugulumizibwa Yesu Kristo bw'alibikkulibwa:
8
gwe mwagala nga temunnaba kumulaba: gwe mutalaba kaakano naye mumukkiriza, ne mujaguza essanyu eritayogerekeka, eritina ekitiibwa:
9
nga muweebwa ekyabakkirizisa, bwe bulokozi bw'obulamu
nga banoonya ebiro bwe biri oba bwe bifaanana Omwoyo wa Kristo eyali mu bo bye yalaga, ng'asooka okutegeeza ebibonoobono bya Kristo, n'ekitiibwa ekibigoberera.
12
Nabo babikkulirwa nga si ku lwabwe bokka wabula ku lwammwe baaweereza ebyo bye mwakajja mubuulirwe kaakano abo abaababuulira enjiri mu Mwoyo Omutukuvu eyatumibwa okuva mu ggulu; bamalayika bye beegomba okulingiza.
13
Kale musibenga ebimyu by'amagezi gammwe, mutamiirukukenga, musuubirirenga ddala ekisa ekiribaleeterwa Yesu Kristo bw'alibikkulibwa;
14
ng'abaana abagonda, nga temwefaananya okwegomba okw'edda okw'omu butamanya bwammwe:
15
naye ng'oyo eyabayita bw'ali omutukuvu era nammwe mubeerenga batukuvu mu mpisa zonna;
16
kubanga kyawandiikibwa nti Munaabanga batukuvu; kubanga nze ndi mutukuvu.
ng'abaana abawere abaakajja bazaalibwe, mwegombenga amata ag'omwoyo agataliimu bulimba; galyoke gabakuze okutuuka ku bulokovu
3
oba nga rnwalega ku Mukama waffe bw'ali omulungi:
4
nga mujja eri oyo, ejjinja eddamu, eryagaanibwa abantu, naye eri Katonda ddonde, lya muwendo mungi,
5
era nammwe ng'amayinja amalamu muzimbibwa ennyumba ey'omwoyo okubeeranga bakabona abatukuvu okuwangayo ssaddaaka ez'omwoyo, ezisiimibwa Katonda ku bwa Yesu Kristo.
6
Kubanga waliwo mu kyawandiikibwa ati Laba, nteeka mu Sayuuni ejjinja ekkulu ery'oku nsonda, eddonde, ery'omuwendo omungi: Era amukkiriza talikwasibwa nsonyi.
7
Kale eri mmwe abakkiriza omuwendo mungi: naye eri abatakkiriza, Ejjinja abazimbi lye baagaana, eryo lye lyafuuka omutwe ogw'oku nsonda;
8
era Ejjinja eryesittalwako, era olwazi olusuula; kubanga beesittala ku kigambo nga tebagonda; era kwe baateekerwawo.
9
Naye mmwe muli ggwanga ddonde, bakabona ba kabaka, kika kitukuvu, bantu ba nvuma, mulyoke mubuulirenga ebirungi by'oyo eyabayita okuva mu kizikiza okuyingira mu kutangaala kwe okw'ekitalo:
eyeetikka ye yennyini ebibi byaffe mu mubiri gwe ku muti, ffe nga tumaze okufa ku bibi, tulyoke tubeerenga abalamu eri 'obutuukirivu; okukubibwa kw'oyo kwe kwabawonya.
25
Kubanga mwali mukyama ng'endiga; naye kaakano mukomyewo eri Omusumba era omulabirizi w'obulamu bwammwe.
Kubanga kye kisinga obulungi, Katonda bw'ayagala mu kwagala kwe, mmwe okubonyaabonyezebwa nga mukoIa obulungi okusinga nga mukola obubi.
18
Kubanga era ne Kristo yabonyaabonyezebwa olw'ebibi omulundi gumu, omutuukirivu olw'abatali batuukirivu, atuleete eri Katonda; bwe yattibwa omubiri, naye n'azuukizibwa omwoyo;
19
era gwe yagenderamu n'abuulira emyoyo egiri mu kkomera,
20
edda abataagonda okugumiikiriza kwa Katonda bwe kwali nga kulindirira mu nnaku za Nuuwa, eryato bwe lyali nga likyasibibwa, emazzi mwe gaalokolera abantu si bangi, gye myoyo omunaana:
21
era kaakano ge gaabalokola mmwe mu kifaananyi eky'amazima, kwe kubatizibwa, si kuggyawo mpitambi za mubiri, wabula okuddamu okw'omwoyo omulungi eri Katonda, olw'okuzuukira kwa Yesu Kristo,
22
ali ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda, bwe yamala okugenda mu ggulu; bamalayika n'abalina obuyinza n'abaamasaza bwe baateekebwa wansi we.
ebyo bye bibeewuunyisa kubanga temuddukira wamu nabo mu bukaba obutalabwanga bwe butyo, aga babavuma:
5
abaliwoza ensonga eri oyo eyeeteeseteese okusala omusango gw'abalamu n'abafu.
6
Kubanga enjiri kyeyava ebuulirwa era n'abafu, balyoke basalirwe omusango ng'abantu bwe bali mu mubiri, naye babeere abalamu nga Katonda bw'ali mu mwoyo.
7
Naye enkomerero ya byonna eri kumpi: kale mwegenderezenga mutamiirukukenga olw'okusaba:
8
okusinga byonna nga mulina okwagalananga okvngi ennyo mwekka na mwekka: kubanga okwagala kubikka ku bibi bingi:
9
nga musembezaganyanga awatali kwe mulugunya:
10
nga buli muntu bwe yaweebwa ekirabo, nga mukiweereza mwekka na mwekka bwe mutyo, ng'abawanika abalungi ab'ekisa kya Katonda ekitali kimu;
naye, kubanga mussa kimu mu bibonoobono bya Kristo, musanyukenga; era ne mu kubikkulibwa kw'ekitiibwa kye mulyoke musanyuke n'okujaguza.
14
Bwe muvumibwanga olw'erinnya lya Kristo, mulina omukisa; kubanga Omwoyo ogw'ekitiibwa era ogwa Katonda atuula ku mmwe.
15
Kubanga omuntu yenna ku mmwe tabonyaabonyezebwanga nga mussi, oba mubbi, oba mukozi wa bubi, oba aketta ebya banne:
16
naye omuntu yenna bw'abonyaabonyezebwanga nga Omukristaayo, takwatibwanga nsonyi; naye atenderezanga Katonda mu linnya eryo.
17
Kubanga obudde butuuse omusango gutandikirwe mu nnyumba ya Katonda: kale, oba nga gusoose gye tuli, enkomerere guliba gutya eri abo abatagondera njiri ya Katonda?
18
Era oba nga kizibu omutuukirivu okulokoka, atatya Katonda omwonoonyi alirabika wa?
19
Kale n'abo ababonyaabonyezebwa nga Katonda bw'ayagala bamuteresenga Omutonzi omwesigwa, obulamu bwabwe olw'okukola obulungi.
Kale mbuulirira abakadde abali mu mmwe nze mukadde munnammwe era omutegeeza w'ebibonoobono bya Kristo, era agabanira awamu ekitiibwa ekigenda okubikkulibwa:
2
mulundenga ekisibo kya Katonda ekiri mu mmwe, ng: mukirabirira si lwa maanyi naye lwa kwagala, nga Katonda bw'ayagala so si lwa kwegombanga amagoba mu bukuusa, naye lwa mwoyo;
3
so si g'abeefuula abaami b'ebyo bye nwateresebwa, naye nga mubeeanga byakulabirako eri ekisibo:
4
Era Omusumba omukulu bw'airabisibwa, muliweebwa engule y'ekitiibwa etewotoka.
nga mumusindiikiririzaiga ye okweraliikirira kwammwe kwonna, kubanga ye ateeka ku nwoyo ebigambo byammwe.
8
Kale mbuulirira abakadde abal mu mmwe nze mukadde munnammwe era omutegeeza w'ebibonoobono bya Kristo, era agabanira awamu ekitiibwa ekigenda okubikkulibwa:
9
oyo mumuziyizenga nga nuli banywevu mu kukkiriza kwanmwe, nga mumanyi ng'ebibonooiono ebyo bituukirira eri baganda vammwe abali mu nsi.
10
Era Katonda ow'ekisa kyonna, eyabaitira ekitiibwa kye ekitaggwaawo au Kristo, bwe mulimala okubo.yaabonyezebwako akaseera akaono, ye yennyini alibatuukiriza, libanyweza, alibawa amaanyi.
Appleton Office:
4321 N. Ballard Road
Appleton, WI 54919-0001 USA
Minneapolis Office:
625 Fourth Avenue S.
Minneapolis, MN 55415-1624 USA
Insurance products issued or offered by Thrivent Financial for Lutherans, Appleton, WI. Not all products are available in all states. Products issued by Thrivent Financial for Lutherans are available to applicants who meet membership, insurability, U.S. citizenship and residency requirements. Securities and investment advisory services are offered through Thrivent Investment Management Inc., 625 Fourth Ave. S., Minneapolis, MN 55415, a FINRA and SIPC member and a wholly owned subsidiary of Thrivent Financial for Lutherans. Thrivent Financial representatives are registered representatives of Thrivent Investment Management Inc. They are also licensed insurance agents of Thrivent Financial.
Bank products and trust services are offered through Thrivent Financial Bank (Member FDIC, Equal Housing Lender), a wholly owned subsidiary of Thrivent Financial for Lutherans. Insurance, securities, investment advisory services, and trust and investment management accounts are not deposits, are not guaranteed by Thrivent Financial Bank, are not insured by the FDIC or any other federal government agency, and may go down in value.