abalina bajjajja abo, era omwava Kristo m mubiri, afuga byonna, Katonda atenderezebwa emirembe gyonna Amiina.
6
Naye si kubanga ekigambo kya Katonda kyavaawo Kubanga abava mu Isiraeri, si ba Baisiraeri bonna:
7
so si kubanga lye zzadde lya Ibulayimu, kyebav babeera abaana bonna: naye, mu Isaaka ezzadde lyo mwe linaayitirwanga.
8
Kwe kugamba nti abaana ab'omubiri, abo si be baana ba Katonda; naye abaana b'okusuubiza be babalibwa okuba ezzadde.
9
Kubanga ekigambo kino kye ky'okusuubiza, nti Ng'ebiro ebyo bwe biri ndijja, ne Saala aliba n'omwana.
10
Naye si ekyo kyokka; era naye ne Lebbeeka bwe yalina olubuto olw'omu, Isaaka jjajjaffe
11
kubanga nga teba nnazaalibwa, so nga tebannakola kirungi oba kibi, okuteesa kwa Katonda mu kulonda kulyoke kunywere, si lwa bikolwa, wabula ku bw'oyo ayita,
12
n'agambibwa nti Omukulu aliba muddu wa muto.
13
Nga bwe kyawandiikibwa ne Yakobo n'amwagala, naye Essaw n'amukyawa.
14
Kale tunaayogera tutya? Obi tali butuukirivu buli eri Katonda Kitalo.
15
Kubanga agamba Musa nti Ndisaasira gwe ndisaasira, gwe ndikwatirwa ekisa gwe ndikwatirv ekisa.
16
Kale bwe kityo si ky'oyo ayagala newakubadde addukana, wabula kya Katonda asaasira.
17
Kubanga ebyawandiikibwa bigamba Falaawo nti Kyennava nkuyimiriza, ndyoke njoleseze amaanyi gange mu ggwe, era erinnya lyange liryoke libuulirwe mu nsi zonna.
18
Kale bwe kityo asaasira gw'ayagala okusaasira, era akakanyaza gw'ayagala okukakanyaza.
19
Kale onoŋŋamba nti Kiki ekinunenyesa nate? Kubanga ani aziyiza by'ayagala?
20
Naye ekisinga, ggwe omuntu, ggwe ani awatana ne Katonda? Ekibumbe kiri;amba eyakibumba nti Kiki ekya:unkoza bw'oti?
21
Oba omubumbi talina buyinza ku bbumba, nu kitole kimu okukola ekibya kimu :ky'ekitiibwa, n'ekirala eky'ensoiyi?
22
Kiki, oba nga Katonda me yayagala okulaga obusungu bwe, n'okumanyisa obuyinza bwe, yagumiikiriza n'okulindirira ennyo ebibya eby'obusungu ebyateekerwateekerwa okuzikirira:
23
alyoke manyise obugagga obw'ekitiibwa ye ku bibya eby'okusaasirwa, bye uteekerateekera edda ekitubwa,
24
ye ffe, n'okuyita be yayita, si mu Bayudaaya bokka, era naye ne mu y'amawanga?
25
Era nga bw'ayogera mu Koseya nti Ndibayita abantu bange, abatali bantu bange; Era ataayagalwa, ayagaliddwa.
26
Awo mu kifo kye baagambirwamu nti Mmwe temuli bantu bange, Mwe baliyitirwa abaana ba Katonda omulamu:
27
Era Isaaya ayogerera waggulu bya Isiraeri nti Omuwendo gw'abaana ba Isiraeri oba guliba ng'omu;enyu gw'ennyanja, ekitundu ehiriigalawo kye kirirokoka:
28
kubanga Mukama alikola ekigambo ye ku nsi, ng'akituukiriza era g'akisalako.
29
Era nga Isaaya we yasooka okwogera nti Singa Mukama Ow'eggye teyatulekerawo zzadde, Twandifuuse nga Sodomu, era twandifaanayizibbwa nga Ggomola.
30
Kale tunaayogera tutya? Nti b'amawanga, abataagobereranga utuukirivu, baatuuka ku butuukivu, bwe butuukirivu obuva mu ukkiriza;
31
naye Isiraeri, mu ugobereranga amateeka ag'obutuukirivu, teyatuuka ku mateeka gali.
32
Lwaki? Kubanga tebaabugobereranga nga bayima mu kukkiriza, wabula nga mu bikolwa. Beesittala ku jjinja eryo eryesittalwako:
33
nga bwe kyawandiikibwa nti Laba, nteeka mu Sayuuni ejjinja eryesittalwako n'olwazi olugwisa: Era akkiriza oyo talikwasibwa nsonyi.
Kale balikaabirira batya gwe batannakkiriza? era balikkiriza batya gwe batannawulirako? era baliwulira batya awatali abuulira?
15
era balibuulira batya nga tebatumiddwa? nga bwe kyawandiikibwa nti Ebigere byabwe nga birungi nnyo ababuulira enjiri ey'ebirungi!
16
Naye tebaagondera njiri bonna. Kubanga Isaaya ayogera nti Mukama, ani eyakkiriza ekigambo kyaffe?
17
Kale okukkiriza kuva mu kuwulira, n'okuwulira mu kigambo kya Kristo.
18
Naye njogera nti Tebawuliranga? Weewaawo, ddala, Eddoboozi lyabyo lyabuna mu nsi zonna, N'ebigambo byabyo okutuuka ku nkomerero z'ensi.
19
Naye njogera nti Isiraeri tamanyanga? Musa ye yasooka okwogera nu Ndibakwasa obuggya eri abatali ba ggwanga, Eri eggwanga eritalina magezi ndibasunguwaza.
20
Era Isaaya aguma nnyo n'ayogera nti Navumbulibwa abo abatannoonyanga, Nalagibwa eri abo abatambuulirizangako.
21
Naye eri Isiraeri ayogera ati Obudde okuziba nagololera emikono gyange abantu abatawulira era abagaana.
kuba oba nga Katonda teyasaasira matabi ga buzaaliranwa, era naawe talikusaasira.
22
Kale laba obulungi n'obukambwe bwa Katonda: eri abaagwa, bukambwe; naye eri ggwe bulungi bwa Katonda, bw'onoobeereranga mu bulungi bwe: bw'otoobeererenga, naawe oliwogolwa.
23
Era nabo, bwe bataabeererenga mu butakkiriza bwabwe balisimbwawo: kubanga Katonda ayinza okubasimbawo nate.
24
Kuba oba nga ggwe wawogolwa ku muzeyituuni ogwali ogw'omu nsiko mu buzaaliranwa, n'osimbibwa mu muzeyituuni omulungi obutagoberera buzaaliranwa, abo, ab'obuzaaliranwa; tebalisinga nnyo kusimbibwa mu muzeyituuni gwabwe bo?
25
Kubanga ssaagala mmwe, ab'oluganda, obutamanya kyama kino, mulemenga okubeera ab'amagezi mu maaso gammwe mwekka, ng'obukakanyavu bwabeera ku Baisiraeri mu kitundu, okutuusa okutuukirira kw'ab'amawanga lwe kulituuka;
26
era bwe kityo Abaisiraeri bonna balirokoka: nga bwe kyawandiikibwa nti Muliva mu Sayuuni Awonya; Aliggyawo obutatya Katonda mu Yakobo:
27
Era eno ye ndagaano yange eri bo, bwe ndibaggyako ebibi byabwe.
28
Mu njiri, be balabe ku lwammwe: naye mu kulondebwa, baagalwa ku lwa bajjajja.
29
Kubanga ebirabo n'okuyita kwa Katonda tebyejjusibwa.
30
Kuba nga mmwe edda bwe mutaawulira Katonda, naye kaakati musaasiddwa olw'obutawulira bw'abo,
Awakanya obukulu kyava awa:anya okulagira hwa Katonda: era bawakana balyezzaako omusango bo bokka.
3
Kubanga abafuga si ba kutiisa mu kikolwa ekirungi, wabula mu kibi: Era oyagala obutatya bukulu? kola bulungi, alikusiima:
4
kubanga ye muweereza wa Katonda eri ggwe olw'obulungi. Naye bw'okola obubi, tya; kubanga ta:watira kitala bwereere: kubanga ye nuweereza wa Katonda, awalana obusungu ku oyo akola obubi.
5
Kyekivudde kibagwanira okuwulira, si lwa busungu bwokka, naye lwa ku lw'omwoyo gwammwe.
6
Era kyemuva muwa omusolo; kubanga be baweereza ba Katonda, nga baayiikirira mu mulimu ogwo.
Temubeeranga na bbanja lyotaa eri omuntu yenna, wabula okwagalananga: kubanga ayagala muntu munne, ng'atuukirizza amateeka.
9
Kubanga kino ati Toyendanga, ottanga, tobbanga, teweegombanga, n'etteeka eddala lyonna, ligattiddwa mu kino, nti Yagalanga muntu munno nga bwe weeyagala wekka.
Kubanga kyawandiikibwa nti Nga bwe ndi omulamu, bw'ayogera Mukama, buli vviivi liriafukaamirira, Na buli lulimi lulyatula Katonda.
12
Kale bwe kityo buli muntu mu ffe alibalirira omuwendo gwe yekka eri Katonda.
13
Kale tulemenga okusalira bannaffe emisaago nate fekka na fekka: naye waakiri musale omusarigo guno, obutaleeteranga wa luganda ekyesittaza oba nkonge.
14
Mmanyi era ntegeeredde ddala mu Mukama waffe Yesu, nga tewali kiutu kya muzizo mu buwangwa bwakyo : wabuta eri oyo akirowooza nga kya muzizo, kiba kya muzizo.
15
Kuba oba nga mugaada wo anakuwala olw'emmere, nga tokyatambulira mu kwagala. Tomuzikirizanga lwa mmere yo oyo Kristo gwe yafiirira.
16
Kale ekirungi kyammwe kiremenga okuvumibwa:
17
kubanga obwakabaka bwa Katonda si kwe kulya n'okunywa, wabula butuukirivu na mirembe na ssanyu mu Mwoyo Omutukuvu:
18
Kubanga aweereza Kristo bw'ati asanyusa nnyo Katonda, n'abantu bamusiima.
19
Kale bwe kityo tugobererenga eby'emirembe, n'eby'okuzimbagananga fekka na fekka.
20
Toyonoonanga mulimu gwa Katonda lwa mmere. Byonna birungi; naye kinaabanga kibi eri oyo alya nga yeesittala.
21
Kirungi obutalyanga nnyama newakubadde okunywanga omwenge, newakubadde okukolanga byonna ebyesitazza muganda wo oba ebimunyiiza oba ebimunafuya.
22
Okukkiriza kw'olina, beeranga nakwo wekka mu maaso ga Katonda. Oyo alina omukisa ateesalira musango mu kigambo ky'asiima.
23
Naye oyo abuusabuusa azza musango bw'alya, kubanga talya mu kukkiriza; na buli ekitava mu kukkiriza, kye kibi.
Era Katonda w'okugumiikiriza n'okusanyusa abawe mmwe okulowoozanga obumu mwekka na mwekka mu ngeri ya Kristo Yesu:
6
mulyoke muwenga ekitiibwa Katonda, Kitaawe wa Mukama waffe Yesu Kristo, n'omwoyo ogumu n'akamwa akamu.
7
Kale musembezaganyenga mwekka na mwekka, nga Kristo bwe yabasembeza mmwe, olw'ekitiibwa kya Katonda.
8
Kubanga njogera nti Kristo yali muweereza w'abakomole olw'amazima ga Katonda, okunyweza ebyasuubizibwa eri bajjajja,
9
era ab'amawanga balyoke bawenga Katonda ekitubwa olw'okusaasira; nga bwe kyawandiikibwa nti Kye`nnaavanga nkwatula mu b'amawanga, Era nnaayimbiranga erinnya lyo.
10
Era nate syogera nti Musanyukenga, mmwe ab'amawanga, wamu n'abantu be.
11
Era nate nti Mutenderezenga Mukama, mmwe ab'amawanga mwenna; Era ebika byonna bimutenderezenga.
12
Era nate Isaaya ayogera nti Waliba ekikolo kya Yese, Era ayimirira okufuga ab'amawanga; Oyo ab'amawanga gwe balisuubira.
13
Era Kat:onda ow'okusuubirwa abajjuze mmwe essanyu lyonna n’emirembe olw'okukkiriza, mmwe musukkirirenga mu kusuubira, mu maanyi g'Omwoyo Omutukuvu.
14
Era nange nze ntegeeredde ddala ebyammwe, baganda bange, nga nammwe mujjudde obulungi, mujjudde okutegeera kwonna, ngs muyinza n'okubuuliriragana mwekka na mwekka.
15
Naye ne yongedde okuguma katono okul wandiikira, nga kubajjukiza na olw'ekisa kye nnaweebwa Katonda
16
nze okubeeranga omuweereza wa Kristo Yesu eri ab'amawanga nga nkolera enjiri ya Katonda omulii gwa kabona, ssaddaaka y'ab'aa wanga eryoke esiimibwe ng'ekuzibwa Omwoyo Omutukuvu.
17
Kale okwenyumiriza ndi nak mu Kristo Yesu mu bya Katonda.
18
Kubanga siryanijanga kwoga kigambo kyonna wabula Kristo bye yankoza, olw'okuwulira kw'ab'an wanga, mu kigambo ne mu kikolwa,
19
mu maanyi g'obubonero n’eby'amagero, mu maanyi g'Omwo Omutukuvu; bwe kityo okuva mu Yerusaalemi n'okwetooloola okutuuka mu Iruliko, natuukiriza enjiri Kristo;
20
naye nga njagala ekitiibwa kino okubuuliranga enjiri, awayatulibwa erinnya lya Kristo nnemenga okuzimba ku musingi gwa beene;
21
naye nga bwe kya wandiikibwa nti Baliraba abatabuulirwanga bigambo bye, Era abataawulira balitegeera.
22
Era kyenaavanga nziyizibwa emirundi emingi okujja gye mu;
23
naye kaakati, kubanga sikyalina bbanga mu nsi zino, era kuban, okuva mu myaka mingi nnali njagala okujja gye muli,
24
we ndigendera mu Esupaniya (kubanga nsuubira okubalaba nga mpitay mmwe mumperekereko okuntuu eyo, bwe ndimala okubalabako n'okusanyukirako awamu nammwe);
25
naye kaakati ŋŋenda e Yerusailemi, okuweereza abatukuvu.
Mbanjulira Foyibe mwannyinaffe, ye muweereza w'ekkanisa ey'omu Kenkereya:
2
mulyoke mumwanirize mu Mukama waffe, nga bwe kigwanidde abatukuw, era mumuyambe mu kigambo kyonna ky'alyetaaga gye muli: kubanga naye yennyini yayamba bangi, era nange nzennyini.
3
Mumulamuse Pulisika ne Akula abaakolera awamu nange mu Kristo Yesu,
4
abaawaayo obulago bwabwe olw'obulamu bwange; be sseebaza nze nzekka, era naye n'ekkanisa zonna ez'ab'amawanga:
5
era mulamuse ekkanisa ey'omu nnyumba yaabwe. Mulamuse Epayineeto, gwe njagala, kye kibala eky'olubereberye eky'omu Asiya eri Kristo.
[24 Ekisa kya Mukama waffe Kristo Yesu Kibeerenga nammwe mwenna. Amiina.]
25
Era oyo ayinza okubanyweza ng'enjiri yange n'okubuulirwa kwa Yesu Kristo bwe biri, ng'ekyama bwe kibikkuddwa ekyasirikirwa okuva mu biro eby'emirembe n'emirembe,
26
naye kaakati kirabise ne lutegeezebwa amawanga gonna mu byawandiikibwa bya bannabbi, nga bwe yalagira Katonda ataggwaawo, olw'okuwulira okuva mu kukkiriza;
27
Katonda ow'amagezi omu yekka aweebwenga ekitiibwa ku bwa Yesu Kristo emirembe egitaggwaawo.
Appleton Office:
4321 N. Ballard Road
Appleton, WI 54919-0001 USA
Minneapolis Office:
625 Fourth Avenue S.
Minneapolis, MN 55415-1624 USA
Insurance products issued or offered by Thrivent Financial for Lutherans, Appleton, WI. Not all products are available in all states. Products issued by Thrivent Financial for Lutherans are available to applicants who meet membership, insurability, U.S. citizenship and residency requirements. Securities and investment advisory services are offered through Thrivent Investment Management Inc., 625 Fourth Ave. S., Minneapolis, MN 55415, a FINRA and SIPC member and a wholly owned subsidiary of Thrivent Financial for Lutherans. Thrivent Financial representatives are registered representatives of Thrivent Investment Management Inc. They are also licensed insurance agents of Thrivent Financial.
Bank products and trust services are offered through Thrivent Financial Bank (Member FDIC, Equal Housing Lender), a wholly owned subsidiary of Thrivent Financial for Lutherans. Insurance, securities, investment advisory services, and trust and investment management accounts are not deposits, are not guaranteed by Thrivent Financial Bank, are not insured by the FDIC or any other federal government agency, and may go down in value.